Munnamagye Major Nsamba Habib Katakabire myaka 54 afiridde mu kabenje ddeka busa akagudde mu Mabira mu kigundu ekimanyiddwa nga Sanga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Emmotoka mwabadde Land Cruiser No. UBQn424N ebadde eva e Kampala ng’edda e Jinja etomereganye ne lukululana No. UBP 644S ebadde eva e Jinja ng’edda e Kampala.
Kigambibwa munna maggye ono ayisizza emmotoka eziwerako eno gyasanze lukululana ebadde evugibwa Kasozi Muhammad.
Oluvannyuma nayingirira emmotoka endala Toyota Corona UBP 411L ebadde evugibwa omusirikale wa police Kayondo Isaac ow’eBweyogerere.
Omwogezi wa police mu kigundu ekya Ssezibwa Hellen Buto asabye abantu bonna okugoberera amateeka gokunguudo, n’okwewala okuvugisa ekimama.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis