Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga simumativu ne bamusigansimbi abattattana obutondebwensi , nga bayita mu kusanyaawo Entobazzi, Ebibira nébisaalu ebitalina kukolebwamu kintu kyonna, ekittattanye embeera y’obudde.
Katikkiro agamba nti ng’Obwakabaka buli wamu ne bannamukago omuli ekitongole kyénsi yonna ki Rotary International, basaba ebikolwa nga bino bisaanye bikomezebwe ku lw’obulungi bwénsi eno némirembe egirijja, mungeri yeemu naasaba government ebeere nsaale mu kukuuma obutondebwensi.
“Tuvumirira nnyo abazimba amakolero mu ntobazi, tewali busizi bwa nsimbi bwamuwendo butuuka muwendo oguli mu ntobazi eri obutonde bwensi”
Katikkiro abadde yeetabye mu nsisinkano ya Rotary eye 99 eya district za Rotary etudde ku Speke resort Munyonyo, neyebaza banna Rotary olwÓmutima ogwagaliza eggwanga nénsi yonna, nga bayita mu kulwaanyisa endwadde ezenjawulo, okukungaanya omusaayi, okutumbula ebyenjigiriza nébyenfuna yábantu.
Katikkiro asabye enteekateeka ya Rotary eyÓkutumbula omwana omuwala egende mu maaso, kyokka naalabula nti ssinga Omwana omulenzi tafibwako ensi eno eyolekedde akaseera akazibu ddala.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, munna Rotary Past district Governor Owek Robert Waggwa Nsibirwa abuulidde aba Rotary ku ntegeka za Buganda ezikyusizza embeera z’abantu, nagamba nti wadde kaweefube w’Ettofaali yavaamu ensimbi eziwerako nti naye ekigendererwa ekikulu kwali kuzuukusa bantu ba Buganda basituke beenyigire mu nteekateeka z’Obwakabaka, n’enkulaakulana y’abantu kinnoomu.
Ekitongole ki Rotary international mu nsi yonna nga kikiikiriddwa Brenda Cressy Cressy agambye nti tebagenda kukoowa kulafuubanira abo abalina Obwetaavu mu mbeera zonna, nga essira lyakusinga kussibwa ku kutaakiriza abaana abafa nga bawere olw’endwadde ezenjawulo, abakyaala n’abaana.
Edward Kakembo Nsubuga nga ye district Gov 1213 ,atenderezza Obwakabaka bwa Buganda olw’Enkolagana ennungi ne Rotary, etunuulidde okusitula obulamu bw’abantu ba buligyo.
Bisakiddwa: Kato Denis