Twaha Ssonko omutuuze we Kitagabana Katwe Bugenge mu gombolola ye Mateete mu district ye Ssembabule, akwatiddwa nga kigambibwa nti alabirizza bazadde b’omwana ow’emyaka 5 nga bagenze okukola, n’amusobyako.
Wabula maama nga ye Annet Nasaazi agenze okukomawo ewaka asanze omwana akaaba ng’avaamu n’omusaayi, abadde akyamubuuza kyabadde nti kwekulaba Ssonko nga yekwese mu kasonda k’ekiyungu.
Alayizza enduulu esoombodde abantu, era Ssonko agezezaako okudduka nebamukwata naatwalibwa ku police.
Mu ngeri yeemu police ekutte Farouk Lubega mu kibiga Mateete, nga naye kigambibwa nti alese mukyala we mu kisenge, n’agenda asobya ku mwanawe ow’emyaka 4.
Jajja w’omwana nga ye Mugabi Nabboth aganbye nti wabaddewo abantu ababadde batandise okubuzaabuzq ensonga eno, kwekutegeeza police ezze nemukwata.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito