Munnauganda Annet Ssemuweba Mutaawe alondeddwa nga Ssaabawandiisi w’omukago gwa East Africa ow’ekiseera.
Oukiiko lwaba minister abavunaanyizibwa ku nsonga z’omukago gwa East Africa, olwa East African council of ministers bebamulonze.
Annet Ssemuwemba Mutaawe yabadde omumyuuka wa ssabawandiisi w’omukago guno.
Ssemuwemba azze mu bigere by’abadde ssabawandiisi w’omukago munna Kenya Dr. Peter Muthuki, Kenya gweyaggya mu kifo kino olw’okwemulugunya okwali kukoleddwa ababaka ba parliament y’omukago gwa East Africa ku nsimbi ezigambibwa nti zaabulankanyizibwa.
Annet Ssemuwemba Mutaawe ssabawandiisi w’omukago wakuweereza mu kifo kino okutuusa ssabawandiisi omujjuvu lwanaalondebwa.