President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asazzeewo okugira ng’ayimiriza enkola ya EFRIS emu ku nkola z’okusolooza omusolo ebadde evaako kaluma nywera wakati w’abasuubuzi ne URA ne batuuka n’okuggalawo amadduka gabwe.
Abasuubuzi bamaze wiiki namba nga baggadde amadduuka gabwe, nga bawakanya enkola ya EFRIS ( Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution), ewaliriza abasuubuzi okugaba alisiiti eyungiddwa ku byuma, ku buli byamaguzi byebatunda.
Abasuubuzi bagamba nti enkola rno ebanyigiriza era ekosa engeri gyebaddukanyamu emirimu gyabwe.
Baasalawo okwekalakasa nga baggalawo amaduuka gabwe okumala wiiki namba.
Mu ensisinako abasubuzi gyebabaddemu ne President Museveni mu makage Entebbe, omukulembeze we ggwanga mweasinzidde nayimiriza enkola ya EFRIS ne ngassi ezitali zimu ku misolo URA gyebadde eggya ku basuubuzi okutuuka nga 7 May,2024.
Abasuubizza okusisinkana abasuubuzi bonna ku kisaawe e Kololo okwongera okutaanya ensonga zino.
Mu ensisinako eno era Museveni ategezeza nti wakusisinkana abakulu mu ministry y’e byensiimbi n’okuteekerateekera e ggwanga, wamu n’abakungu mu URA bongere okumubuulira enkola z’emisolo bwezikola, olwo asisinkane abasuubuzi nga 7 May,2024 asalewo ekyenkomeredde.
Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda ategeezezza CBS nti ebyatuukiddwako wakati wa president n’abasuubuzi wakukakasa nti biteekebwa mu nkola okutuusa lwebanaddamu okumusisinkana nga bweyasuubizza.
Ye ssentebe wa basubuzi mu kibiina Kya KACITA Tadeous Nagenda Musoke agambye nti ensisinako yabwe ne president Museveni yabadde yabibala byereere.