Kkooti y'amagye esalidde omusirikale w'eggye erikuuma President wa Uganda erya SFC, ekibonerezo kyakuwanikibwa ku kalabba oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw'okutta ab'oluganda 5 mu district ye Mayuge. Akulira Kkooti eno etudde e...
Abantu baweze 31 abaakafa, abaayokebwa omuliro ogwava ku mmotoka y'amafuta eyagwa e Kigoogwa, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu. Okusinziira ku alipoota ya police, abasajja abafudde bali 22...
Essomero lya St.James Bbiina Primary School erikutte omuliro lisangibwa Mutungo Bbiina mu gombolola ye Nakawa mu Kampala. Omuliro gutandise ku saawa nga 3 ez’okumakya nga 31 October,2024, wabula tekinamanyika kweguvudde....
Abantu basatu nga bonna baana balenzi bafiiridde mu kabenje akagudde e Buloba Njeru ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kayunga. Abaana bano babadde batambulira ku kagaali nga basala...
Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu district ye Wakiso keyamye okuwagira ebbago erikyabagibwa erigendereddwamu bannauganda okubeera n'eddembe okulya emmere erimu ebiriisa erimanyiddwa nga Food and Nutritional Bill 2024. Mu kiseera kino omubaka...
Police ekutte era neggalira abayizi 11 nga bavunaanibwa okwetaba mu kwekalakaasa okubadde ku Kyambogo University. Abayizi albatanudde okwekalakaasa nga bawakanya eky'abakuliira University eno okuyimiriza okulonda kw`okuliko lw'aabayizi, ate University neronda...
Omuwendo gw'abantu gulinnye okuva ku bantu 15 abaasooka okulangirirwa abaafiirawo mu muliro ogwakwata emmotoka y'amafuta eyagwa e Kigoogwa Matugga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu. Oluvannyuma lwa police...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa agambye nti ebitongole bya government ebitalina nsimbi zebiyingiza mu ggwanika ly'eggwanga ,bibadde bitwaala ensimbizomuwi w'omusolo eziri mu trillion 2 n'obuwumbi 200 okubiyimirizaawo buli...