Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala, Paul Ssemwogerere, mweralirikirivu olw’eddini eyeyongera okuggwa mu bantu, olw’abazadde abatakyafaayo okusabira awamu naboomumaka gaabwe ekintu ekiviriddeko eggwanga obutagwamu bizibu buli kadde.
Ssabasumba mu bubaka bwatisse Omusumba wa Kasana-Luweero,Lawrence Mukasa, ku mukolo ogw’okutongoza kutongoza ekitundu ekyokubiri eky’okuzimba ekereziya empya ku kiggo kya St Jude e Wakiso, ekigenda okuwemmenta obukadde bwa sh 900.
Ekiggo kino ekya St. Jude Wakiso era kikuzizza emyaka 18 bukyanga kitandikibwawo, n’abaana abawerera ddala 600 baweereddwa essakalamentu lya Kofirimansiyo
Ssaabasumba alabudde nti embeera eriwo kati ng’abazadde tebakyafaayo kulungamya baana babwe mu ddini bigenda kutondawo omulembe ogwabanantagambwako.

Omusumba Mukasa agambye nti nabantu okugwamu essuubi byebimu kubiviiriddeko eggwanga okufiirwa abantu mungeri eyandibadde yewalika .
Omubaka wa parliament owa Busiro East Merdard Lubega Sseggona Akalyamaggwa, asinziridde wano nasaba abakristu bonna okuvaayo bogeze eddooboozi limu ku nsonga y’emmwanyi.

Bwanamukulu wekigo kya st Jude Rev Fr Ronnie Mubiru asabye abakulembeze okubeera ekyokulabirako mu kiseera kino ng’ebintu ebisinga obungi engeri gyebikolebwamu mu ggwanga eri kubikukujju.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo











