Bannabyabufuuzi 5 bebakasuunsulwa okuvuganya ku kifo kya Lord Mayor wa Kampala mu kalulu akajja aka 2026, ate nga n'abalala bakyajja. Abaakasunsulwa, kuliko Engineer Ronald Balimwezo Owa NUP, Ibrahim Kasozi Owa...
Munnakibiina kya NRM Onesmas Twinamasiko, eyesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Bugangaizi East asiindikiddwa ku alimanda mu kkomera, avunaaniddwa omusango gw'okukuba ekikonde n'okulumya Ssaabaminister Robinah Nabbanja. Omulamuzi wa kooti e Kibaale...
Akakiiko k'eby'okulonda aka Electoral Commission of Uganda katandise okusunsula abantu abagala okuvuganya ku bifo by'obukulembeze bwa government ez'ebitundu okwetoloola eggwanga. Abasuunsulwa kuliko abagala ebifo bya ba Mayor b'ebibuga, ba ssentebe...
Abatuuze ku kyalo Sseeta Namanoga mu gombolola ye Namuganga Mukono baziinduukirizza abantu basatu ababadde bateeberezebwa okuba ababbi babasse, nga bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero mga 29 August,2025. Abasatu...
Abantu babiri bafiiridde mu Kabenje akagudde mu kabuga ke Buyaga ku Luguudo oludda e Lwakajula mu district ye Lyantonde. Abafudde kuliko Barigye Alex ne YudaTadeo Gumisiriza bombi batuuze bo ku...
Omukulembeze w'eggwanga era ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni ayimirizza akalulu k'abavubuka mu NRM okubadde e Kololo, olwemivuyo egisusse,nalagira akulira ebyokulonda mu kibiina kino Dr. Tanga Odoi okugira ng'akayimirizza. Akalulu...
Wabaddewo okuluma obugigi mu kubala obululu bw'okulonda ku kifo kya ssentebe w'abakyala ba NRM, abamu ku babadde besimbyewo bwebadduse mu kalulu ku ssaawa esembayo nga bali mu layini, oluvannyuma lwokulaba...