Ababbi batadde ku bunkenke abatuuze ku byalo okuli Bujaasi, Busembe ne Mpiringisa, bisangibwa mu muluka gwe Maya mu town council ye Kyengera mu district ye Wakiso.
Waliwo omutuuze atemeddwa ababbi, nebamunyagako ensimbi.
Atemeddwa ye Kakinda Ronnie ngoono akola ku mudaala gw’ennyama ogwa kitaawe mu kitundu ekye Maya ku 13.
Kigambibwa nti baamutemye ku saawa nga satu n’ekitundu ng’annyuse adda waka mu LC eye Maya Mpiringisa, nebamunyago n’ensimbi zonna zeyabadde akoze.
Kakinda oluvannyuma addusiddwa mu ddwaaliro erye Lubaga mu Kampala ngali mu mbeera mbi.
Owamawulire ku lukiiko lw’eggombolola ya Ssabagabo Nsangi Kamoga Muhammad ategeezezza Cbs nti Kati abantu 4 bebaakatemebwa ababbi abo mu bbanga lya wiiki 2.
Ssentebe wa LC eye Maya Mpiringisa nga ye Bukenya Moses agambye nti mukiseera webatemedde Omutuuze Kakinda, baabadde kuludda lw’ekyalo olulala nga balawuna ne Police, era asabye buli muntu abeera annyuka okwegendereza obutatambula yekka naddala mu bifo ebirimu enzikiza.#
Bisakiddwa: Patrick Sserugo










