Police e Katwe mu Kampala eggalidde abasajja babiri nga ebalanga kusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka.
Abakwate kuliko Ochan Denis Joseph owemyaaka 42 nga ava mu district ye Agago ne Akena Ronald Ocen.
Kigambibwa nti emmundu kika kya postal yabbibwa ku Muserikale wa police Walusimbi Christian , olunaku lweyagwa ku kabenje nga 6 November,2022.
Kigambibwa nti nga 11 January, 2023 , Ochan Denis bweyali mu kifo awasimbibwa mmotoka n’okuzaaza ekiyitibwa Maasomooji parking Yard esangibwa mu Katenda Zone Katwe II Parish, n’aggyayo emmundu n’atiisatiisa Swabulla Nakiddde omukozi mu kifo ekyo, ng’amulagira okumuwa ensimbi zonna zeyali akozeewo.
Wabula abakozi mu kifo kya Maasomooji berwanako, emmundu nebagimusuuza era nebamuwaayo eri aboobuyinza.
Ababiri bano olukwaatiddwa basangiddwa n’amasaasi 13,amasimu agawerako , Jacket bbiri nekalonda omulala mungi.
Amyuuka Omwoogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwaano Luke Oweyisigire , agambye nti okunoonyereza ku babiri bano kutandise, omuli n’Okunoonya bonna abaali batuusiddwaako obulabe Abantu bano.
Bisakiddwa: Kato Denis