Abantu abawerako basigadde nébisago ebyámaanyi taxi mwebabadde batambulira bwegaanye okusiba neyingirira mmotoka endala , nékosa nábagoba ba bodaboda ababadde batambula agaabwe.
Akabenje kagudde ku luguudo lwa Sir Appolo mu Kampala.
Taxi egaanye okusiba eri No. UAH 937R ebadde ekkirira akaserengeto akava mu bitundu bya Bbakuli ngégenda mu Kampala, eyingiridde ne taxi endala ebadde eva mu bitundu bye Bwaise No. UAQ761H.
Police nékitongole kya Red cross batuuse mangu nebaddusa abakoseddwa mu malwaliro, nga bali mu mbeera mbi.
Abakoseddwa abamu babadde batambulira mu taxi egaanye okusiba, abalala babadde batambulira mu taxi endala gyeyingiridde, ate abambi babadde bagoba ba bodaboda ababadde batambula agaabwe.
Bisakiddwa: Nakato Janefer