Ab’obuyinza mu district ye Pakwach batandise omuyiggo gw’abasibe 4, balabirizza abakuumi okuva ku kooti nebateekako kakokola tondeka nnyuma.
Abasibe okuli David Otoywoth avunaanibwa gwa bubbi, Simon peter Atipo gwa kukabassanya Omwana omuto, Guma Benson Mambo ne Vincent Wathum bavunaanibwa gwa kubba mmotoka.
Abana bano batolokedde mu kiseera bwebabadde balinnya loole y’ekitongole ky’amakomera okuzzibwayo mu kkomera.
Police n’ekitongole ky’amakomera bakubye amasasi okubayimiriza nebeerema, wabula omu Vincent Wathum akwatiddwa.
Omwogezi wa police mu West Nile Josephine Angucia ,agambye nti omuyiggo gw’ababadde abasibe basatu gukyagenda mu maaso, era nga bano baakuvunaanibwa buto ssinga bakwatibwa.
Bisakiddwa: Kato Denis