Abaddukanya Kyambogo University batandisewo enkolagana ne government ya Cuba, okubakwasizaako n'okubafunira abasomesa ababayambako mu masomo ga science agamu. Omumyuka w'akulira Kyambogo, Prof Elly Katunguka Rwakishaye, agambye nti balina abasomesa batono...
President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alabudde emikutu gy'amawulire n'abakolamu okwewala okukola gaayise amawulire ag'obukyayi, agayawulayawula, gagambye nti gaviiriddeko enkulakulana ya Uganda okutambula akasoobo. President agambye nti government gyakulembera eriko ensonga...
Abayizi 13,221 bebagenda okutikkirwa ku matikkira ga University eno ag'omulundi ogwe 73, agatandika nga 13 February 2023. Abayizi 6809 (52%) bawala, ate abalenzi bali 6412(48%). Ku mulundi guno abayizi 102...
Entiisa ebutikidde e kyalo Kiwagama mu gombolola y'e Butagaya mu district ye Jinja, omuti ogubadde gutemebwa bwegugwiridde omukyala abadde mu nnimiro ye negumutta. Suzan Atwoli abadde ne bba Lubogo Antony...
Enkuba ebaddemu kibuyaga ow’amaanyi n’omuzira, egoyezza ebintu mu magombolola abiri mu district ye Kayunga, abaayo n’ebaleka nga bajaasimula bugolo. Ebyalo ebikoseddwa bisangibwa mu gombolola ye Kitimbwa ne Busaana. Abantu 7...
Ekkanisa ya Uganda erangiridde nti mu butongole yeyawudde era siyakugoberera nteekateeka zonna ez'ekkanisa ya Bungereza, oluvanyuma lwekkanisa eyo okulangirira nti ekkirizza okugatta abagole ab'ekikula ekimu mu bufumbo obutukuvu. Ssaabalabirizi Dr.Kazimba...
Ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board kifulumizza ebibuuzo by’abayizi abaatuula eby’akamalirizo ebya S.4 omwaka oguwedde 2022. Ku bayizi abaatuula ebibuuzo 345,695, mu centers 3703, abaayise era bakkirizibwa...
Abantu abasoba mu 11,2000 bebaakazuulwa nga baafudde olwa mutenzaggulu (musisi) eyayise mu Turkey. Munnauganda omu yeyakazuulwa mu bifunfugu by'ekizimbe ekyagudde, atwaliddwa mu ddwaliro ajanjabibwe. Minister wa Uganda ow'ensonga zebweru w'eggwanga...