Abaddukanya Kyambogo University batandisewo enkolagana ne government ya Cuba, okubakwasizaako n’okubafunira abasomesa ababayambako mu masomo ga science agamu.
Omumyuka w’akulira Kyambogo, Prof Elly Katunguka Rwakishaye, agambye nti balina abasomesa batono ddala, abasinga bagenze mu mawanga malala.
Agammba nti abasomesa abasinga tebaagala kusomesa mu ssetendekero ono, olwensimbi entono ezibaweebwa.
Prof Katunguka era ayagala gavumenti eyongere ssetendekero ono, ensimbi ezokudaabiriza ebizimbe n’ebisulo by’abayizi ebiri mu mbeera embi, n’emirimu.
Okutwaliza awamu Kyambogo University yetaaga wakiri obuwumbi bwa shs 20, okubaako kyebakyusa ku mbeera ya University eno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis