Entiisa ebutikidde e kyalo Kiwagama mu gombolola y’e Butagaya mu district ye Jinja, omuti ogubadde gutemebwa bwegugwiridde omukyala abadde mu nnimiro ye negumutta.
Suzan Atwoli abadde ne bba Lubogo Antony mu nnimiro nga basima lumonde owe kyeggulo, omuti omuwanvu abasalamala gwebabadde basala mu kibira ky’omuyindi ekiriraanye ennimiro yabwe, negumugwira.
Police ye Butagaya eyitiddwa, n’eggyawo omulambo.
Sentebe wa district ye Jinja atuuse mu kitundu naasaba obwenkanya bubeerewo, amaka agakoseddwa galiyirirwe.
Bisakiddwa: Kirabira Fred