President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alabudde emikutu gy’amawulire n’abakolamu okwewala okukola gaayise amawulire ag’obukyayi, agayawulayawula, gagambye nti gaviiriddeko enkulakulana ya Uganda okutambula akasoobo.
President agambye nti government gyakulembera eriko ensonga ezenjawulo zeyasalawo okuteekako essira, okuli obukulembeze, ebyenjigiriza, enkulakulana ya buli muntu n’endala, nti kyokka waliwo bannamawulire abakozesebwa enteekateeka zino okuziwakanya ssonga zankizo.
President Museveni abadde aggalawo omusomo gwa bannamawulire ogwategekeddwa ekibiina Kya Uganda Journalists Association, (UJA), n’amaka g’obwa president, guyindidde ku kisaawe kya Kyambogo university.
President Museveni era aaabye bannamawulire okwogera okutumbula enkola y’obumu, obwasseruganda mu Uganda ne mu mawanga ga Africa, n’okwewala okukozesebwa bannakigwanyizi.
Minister webyamawulire n’okulugamya eggwanga, Dr Chris Baryomunsi, asinizdde mu lukugana luno e Kyambogo, naloopa eri president nti banamawulire abasinga tebaganyuddwa mu nteekateka za government ezimu omuli emyooga, PDM nendala.
Wabula ku nsonga ya bannamawulire okukubwa e nga bakola emirimu gyabwe, agambye nti bakukolagana nabakwatibwa ensonga okumalawo omuze guno.
Omukulembeze wa bannamawulire mu kibiina kya Uganda Journalists Association, (UJA), Mathias Rukondo, agambye nti bannamawulire mu Uganda bakyasoomozebwa okufuna ensimbi ezokwetandikirawo emirimu ejibakulakulanya, nabamu obutasobola kuddayo kusoma, naasaba president n’amaka gobwa president okubalowooza mu ngeri ey’enjawulo mu by’okusoma.
Bannamawulire 586 beebeetabye mu kubangulwa kuno okumaze enanku 6, abakyala babadde 138, ate abasajja babadde 448, era baweereddwa amabaluwa agabasiima olw’okujjumbira omusomo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis