Abantu abasoba mu 11,2000 bebaakazuulwa nga baafudde olwa mutenzaggulu (musisi) eyayise mu Turkey.
Munnauganda omu yeyakazuulwa mu bifunfugu by’ekizimbe ekyagudde, atwaliddwa mu ddwaliro ajanjabibwe.
Minister wa Uganda ow’ensonga zebweru w’eggwanga Okello Oryem agambye nti tebanazuula oba nga waliwo bannauganda abaafiiridde mu mbeera eno, wabula waliwo 2 abatamanyiddwa mayitire,wadde nga babadde babeera mu bimu ku bizimbe ebyagudde.
Mu ngeri yemu minister Oryem asabye banna Uganda abali mu Turkey okugoberera ebiragiro ebibawebwa government yaayo, n’okukozesa ekitebe kya Uganda ekiri mu gwanga eryo nga balina kyebeetaaze.
Mutenzaggulu eyayise e Turkey ne Syria ku monday ya wiiki eno yabadde azitowa magnitude 7.8, abantu bangi yabasse mu kiro nga bebase n’abalala baawagamidde mu bizimbe ebyafuuse ganyegenya.#