Abayizi 13,221 bebagenda okutikkirwa ku matikkira ga University eno ag’omulundi ogwe 73, agatandika nga 13 February 2023.
Abayizi 6809 (52%) bawala, ate abalenzi bali 6412(48%).
Ku mulundi guno abayizi 102 nga ku bano 41 bakazi ate 61 basajja, bebagenda okutikkirwa degree eyokusatu (PHD).
Mu ngeri yeemu Makerere University egenda kuwa Prof. Christopher Curtis Whalen munansi wa Amerika ne digiri ey’ekitiibwa (Honorary doctor of science).
Okusinziira ku Prof. Buyinza Mukadasi akulira ebyenjigiriza mu Makerere University, Prof. Christopher Whalen basazeewo okumuwa digiri eno eyekitiibwa, okusiima emirimu amatendo gy’akoledde ensi n’addala mukunonyereza ku nsonga ezenjawulo mu science.
Amatikira gano gakukulemberwamu minister w’ebyenjigiriza era mukyala w’omukulembeze w’egwanga Janet Kataha Museveni, gagenda kumala ennaku 5.
Bisakiddwa: Gerald Ddamulira