Omuliro gusanyizaawo ebintu by'abasuubuzi mu district ye Mukono mu gombolola ye Mpatta ku kyalo Mpatta. Omuliro ogutanaba kutegerekeka kweguvudde gukutte mu kiro negusanyaawo akatale k'e Mpatta, era abasuubuzi tebasobodde kutaasa...
Abantu 4 bawonedde watono okufiira mu muliro ku kyalo Kawuula A mu muluka gwe Kisozi mu ggombolola ye Kifampa mu district ye Gomba, abantu abettima bwebayiye amafuta ga petroli ku...
Ekitongole kya Police eky’eby’obulamu kitegezezza ebyavudde mu kwekebejja emirambo gy’abayizi e 17 egyayokebwa negisiriira mu bulumbaganyi obwakolebwa abatujju ba ADF ku ssomero lya Lhubiriha Secondary School e Kasese, kiffulumizza ebyava...
Abantu 5 nga bonna ba munju emu batemuddwa ku kyalo Kijonjo Buwunga mu district ye Masaka. Ssalongo Emmanuel Muteesaasira atemeddwatemeddwa ne mukyalawe Prossy Ndagaano n'abaana 3. Abaana abalala abasimattuse tebasangiddwawo...
Kkooti enkulu etaawulula enkayana mu maka eragidde abaana b'omugenzi eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu Stella Arach, okuteesaganya n'aboluganda lwabba okusalawo oba ng'aziikibwa mu limbo ya klezia Bba w'omugenzi nga ye...
Abantu 4 bebateberezebwa okuba nga bafiridde mu kabenje akagudde e Kamengo mu district ye Mpigi ku luguudo lwe Masaka, emmotoka 2 zitomereganye bwenyi ku bwenyi. Akabenje kano kaguddewo nga zikunukiriza...
Abantu 3 bataasiddwa okuva mu mugga Nyamwamba mu district ye Kasese, nga bano baabadde bagudde mu mazzi g'omugga guno ogwabooze negusalako amakubo. Abannyuluddwayo kigambibwa nti bakozi mu kirombe kya Kirembe...