Abantu 4 bebateberezebwa okuba nga bafiridde mu kabenje akagudde e Kamengo mu district ye Mpigi ku luguudo lwe Masaka, emmotoka 2 zitomereganye bwenyi ku bwenyi.
Akabenje kano kaguddewo nga zikunukiriza okuwera saawa bbiri ezokumakya.
Emmotoka kika kya Town Hiace UBL 045K nga etomereganye ne Alphard, police gyegyeewo nga enamba zaayo tezinamanyika.
Abamu kuberabiddeko ku kabenje kano bagamba nti emotooka zombi zibadde ziwenyuka buweewo.
Police emirambo egyijeewo nga nókunonyereza ku kivudeko akabenje kano bwekugenda mu maaso
Bisakiddwa: Lukenge Sharif