Police y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano efulumizza ennambika y’ebidduka egenda okugobererwa, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bw’anaaba aggulawo emipiira gy’amasaza 2023.
Busiro bannantameggwa ba 2022 bagenda kuttunka ne Mawokota mu kisaawe e Wankulukulu ku Saturday nga 24.June,2023.
Patrick Onyango omwogezi wa Police mu Kampala n’emirirano ategezezza nti okuva ku bitaala e Kabusu okugenda e Wankulukulu bakuyita ku luguudo lwa Kiyimba , Mutundwe okutuuka ku kisaawe.
Patrick Onyango era etegezezza nti wagenda kubeerawo n’enkyukakyuka mu ntambula y’ebidduka naddala ku mottoka eziva ku Entebbe Road nga zikozesa oluguudo lwe Bunamwaya.
Patrick Onyango ategezeza nti emottoka z’abakungu n’abagenyi abayite bokka bebagenda okukkirizibwa okusimba emmotoka zabwe okulirana ekisaawe kye Wankulukuku.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico