Government ya Uganda erangiridde nti abakadde abasoba mu 6000 okuva bibiina 566, bebakafuna ssente okuva mu nteekateeka eyatuumwa Special Enterprise Grant for older Persons, government mweyita okuwa ebibiina by'abakadde ensimbi...
Police okuva e e Kawempe ne Matugga etandise okunoonyereza ku ttemu erikoleddwa ku bakuumi ababadde bakuuma ku Skyland jet car wash and parking e Kavule ku luguudo lwe Ssemuto mu...
Omusawo w'eddwaliro ly'e Kanoni mu Gomba Ssemwogerere Vincent n'omugoba wa boda boda Ssemiyingo Shafic bafiiridde mu kabenje mu kkoona lyokukyalo Siitabaale Nsambwe Kanoni town council mu Gomba, ku luguudo oluva...
Oludda oluvuganya government mu parliament lutadde ministry y'ebyenjigiriza ku nninga ebuulire eggwanga mu lwatu ebiri mu ndagaano gyeyakoze neba musiga nsimbi okuva mu Turkey aba kampuni ya Summa Beyawadde ekisaawe...
Police e Ntinda eri ku Muyiggo gw'abazigu abalumbye DIPO ya Riham esangibwa e Ntinda mu Kampala balese balumizza abantu babiri. Luke Oweyisigire amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n'emiriraano ategezeza...
Omujaasi wa UPDF Peter Lokidi akolera mu kibinja ekyokusatu yesuddemu akambaayaaya asse mukyala we n'abantu abalala 3. Ettemu lino libadde ku kyalo Nakapelimoru mu district ye Kotido, nga kigambibwa nti...
Abatuuze ku Kyalo Kisimbannyiriri mu muluka gw'e Lusango e Bukulula mu district y'eKalungu bagudde ku mulambo gwa munnabwe nga guli mu musiri gwe ogw'ennyaanya ezaabadde zi mufuddeko. Omugenzi ye Nkalubo...
Government etandise okusasula abantu abagenda okusengulwa ku ttaka eririraanye olusozi Masaaba mu District ye Buduuda, okwerinda okubumbulukuka kw'ettaka okuva ku nkuba ey'amaanyi esuubirwa okutonnya okumala emyezi 3. Buli maka gaweebwa...