Omusawo w’eddwaliro ly’e Kanoni mu Gomba Ssemwogerere Vincent n’omugoba wa boda boda Ssemiyingo Shafic bafiiridde mu kabenje mu kkoona lyokukyalo Siitabaale Nsambwe Kanoni town council mu Gomba, ku luguudo oluva e Mpigi okudda e Gomba ne Sembabule.
Kigambibwa okuba nti owa boda boda abadde ayisa lukululana eyabadde eweta ekkoona, ekyana kyayo nekibakoona.
Lukululana ebakoonye tetegeereekese namba.
Abalala 2 abafudde kuliko omusuubuzi w’emmere amanyiddwa nga Kawooya omutuuze we Malere Gomba abadde avuga pikipiki nga terina mataala, atomereganye n’omuvubuka owemyaka 25 amanyiddwako lya Collin abadde avuga ggaali maanyi ga kifuba nayo tebaddeeko ttaala.
Collin mutabani w’omutuuze Ssenyonga Jackson owokukyalo Najjooki Gomba.
Batonereganidde mu kasenyi akaawula ekyalo kye Najjooki ne Wanjeyo mu town council ye Kanoni mu Gomba.#
Bisakiddwa: Patrick Sserugo