Government ya Uganda erangiridde nti abakadde abasoba mu 6000 okuva bibiina 566, bebakafuna ssente okuva mu nteekateeka eyatuumwa Special Enterprise Grant for older Persons, government mweyita okuwa ebibiina by’abakadde ensimbi ezitali zakuzaayo bekulaakulanye.
Mu nteekateeka eno eya Special Enterprise Grant for older Persons, mu buli district muwebwamu ebibiina by’abakadde 3, nga buli kimu kirimu abantu abatasukka 5 nebawebwa obukadde bwa shs 5.
Minister Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abakadde mu ministry y’ekikula ky’abantu Dominic Mafwabi Gidudu, agambye nti mu mbaliriira y`omwaka 2023/2024 bataddemu obuwumbi 100, era nasaba abakadde okutandikawo ebibiina befunire ku ssente bekulaakulanye.
Wabula ate government egamba omuwendo gw’abakadde gweyongera okulinnya buli lunaku, era ebibalo ebyakasembayo biraga nti abakadde ba Uganda balinnye okuva ku kakadde 1.7m, okutuuka ku bukadde 2.2m.
Mu mbeera eno government agamba nti egenda okweyambisa olunaku lw’abakadde olugenda okukuzibwa nga 01/10/2023, mu district ye Kyegegwa, ekubaganye ebirowoozo ku ngeri gyegenda okukwatamu ensonga z’abakadde.
Mu mbeera yermu government egamba nti egenda kutunula mu ky`okudiriiza ku myaka abakadde kwebalina okuwebwa ensimbi okuva ku myaka 80 okukka ku myaka 65.
Mu ngeri yeemu minister agambye nti enteekateeka y’ensimbi shs 25000/= eza Senior Citizens Grant for Older Persons eziweebwa abakadde buli mwezi nti nayo etambula bulungi.
Abakadde abasussa emyaka 80 abawera emitwalo 300,000 bebaganyulwa mu nsimbi zino eziwebwayo government ya Uganda.
Bisakiddwa: Musisi John