Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nteebereza y’obudde mu gwanga ekya Uganda National Meteorological Authority “UNMA” bafulumizza enteebereza y’enkuba ey’amaanyi esuubirwa okutonnya mu bbanga ery’e myezi 4, yakubaamu ebibamba.
Babadde mu kibuga Mbarara ku Acacia hotel mu musomo ogw’ennaku 2 ogwa bannamawulire abasaka ebikwata ku mbeera y’obudde.
Kalema Abubaker nga y’omu ku bakugu abakulira abavunanyizibwa ku nteebereza ne mbeera y’obudde mu bitundu ebya Buganda, ne Rwizi nga district omuli Isingiro, Kiruhura Mbarara Ntungamo, Ssembabule, Lyantonde,Masaka, Mubende, Mpigi n’endala agambye nti basuubira enkuba okugenda nga yeyongera obungi okuva mu September okutuuka mu December 2023.
Agambye enkuba eno eyitibwa Elinino evudde ku mbuyaga ekunta ey’amaanyi ekuba ngeeva mu liyanja erinene li Indian ocean, okusinga ku ya bulijjo.
Agambye nti embuyaga eno ey’amaanyi ekunta ebadde yakoma kulabika mu mwaka gwa 1997 eyaleeta enkuba ey’amaanyi, erabasuubira yegenda okutonnya ne mu kiseera kino.
Kalema alabudde abantu okusenguka amangu mu bitundu ebitera okubaamu okubumbulukuka kw’e ttaka n’amataba okuli Bulambuli, Buduuda n’awalala.
Enkuba eno era esuubirwa okuvaako endwadde okweyongera okuli omusujja gw’ensiri,embiro n’ebirala.
Bbo abalimi baweereddwa amagezi okulima ebimera ebigumira amazzi amangi nga bakwataganira wamu nabalimisa.
Abalunzi bawabuddwa okukwatagana n’abalimisa okwewala ebisolo okulwala.
Abakulira ebitongole by’enguudo basabiddwa ogogola emyala mu budde kitaase ku mataba.
Bisakiddwa: Emilly Nakasiita