Ekisaalaate kya Nnabagereka 2023 kikomekkerezeddwa ku ssomero lya Muzza High School e Kabembe Mukono mu Kyaggwe. Kimaze ennaku 16 nga kibangula abaana b’eggwanga ku mpisa , Ennono , Obuwangwa n’embeera...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu amatendo egikoleddwa Douglas Nelson Ssenyonjo eyavudde mu bulamu bwensi eno, ng'abadde muweereza mu Kitongole ekye Nkuluze. Omutanda obubaka buno abutisse Nalinnya Agness...
Abayimbi ba GANDA BOYS okuli Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde basomoozezza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa bw’okusomesa abaana ennono n’obuwangwa byabwe okuva nga bakyali bato bakule nga babyenyumirizaamu. Abayimbi bano babadde mu...
Douglous Nelson Ssenyonjo abadde aweerereza mu kitongole kya Ssaabasajja Kabaka ekya Nkuluze mu Bulange Mengo. Douglas Nelson Ssennyonjo, yafudde mu kiro ekyakeesezza ku lwokutaano. Wategekeddwawo okusabira omugenzi leero ku lwomukaaga...
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga abangudde abasaakaate ku ngeri gyebasobola okwerabirira nebafuuka abantu ab'omugaso. Ekisaakaate kya Nnabagereka kiri ku ssomero lya Muzza High School Kabembe Mukono. Katikkiro alabudde...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga omusaayi agugabidde ku kisaawe kya Old Kampala SSS mu ssaza Kyadondo. Katikkiro agambye nti abantu balina okukolera awamu ku nsonga z'ebyóbulamu, ngámalwaliro mussibwamu ebikozesebwa,...
Ensimbi akawumbi ka shilling za Uganda 1,001,092,894 (billion emu nákakadde kamu némitwalo mwenda mwénkumi ebbiri mu lunaana mu kyenda mu nnya) zezaasondeddwa abantu ba Ssabasajja Kabaka mu nkola ya Luwalo...
Bannakyadondo n'okusingira ddala abavuzi ba Bodaboda bazze mu bungi ku lunaku olusoose olugguddewo okuggulawo enteekateeka y'okugaba omusaayi, ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation ne bannamikago abalala. Omulangira David Kintu Wassajja...