Omu ku bambowa ba Kabaka Hajji Hussein Ssengendo avudde mu bulamu bw'ensi, oluvannyuma lw’akaseera akawerako nga mukosefukosefu. Haji Ssengendo yafiiridde mu makaage agasangibwa e Nakiwaate ekiri mu gombolola ye Nakifuma...
Giweze emyaka 57 bukyanga magye ga Milton Obote gaalumba Olubiri lwa Kabaka Sir Edward Muteesa II e Mengo negalwezza. Mu bulumbaganyi buno Kabaka Sir Edward Muteesa II era eyali president...
Emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll egy’emyaka 68 egiddukiddwa mu Canada, gikomekkerezeddwa mu mirembe. Gitambulidde ku mulamwa ogw'o kulwanyisa Mukenenya. Emisinde gino egibumbujjidde mu kibangirizi kya Marie...
Abakyala mu Buganda okuva mu masaza egenjawulo batandise okutuuka mu kifo kya Ssese Island Beach,ewagenda okubeera emikolo gy'okujaguza olunaku lw'abakyala wamu ne ttabamiruka w'abakyala mu Buganda mu Ssaza lye...
Senkulu wa radio ya CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe arangiridde nti nga bakolera wamu ne bana cbs fans club okwetoloola ebitundu ebyenjawulo bakunnyikiza enkola y'okusimba emiti ng'omu ku kawefube w'okutaasa...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Ababiito be Kooki okufuba okunyweza obumu, kiyambeko mu kulwanyisa amalindirizi agaagala okubaawula n’Obwakabaka bwa Buganda. Katikkiro abasisinkanye mu mbuga ya Buganda enkulu Bulange...