Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Nyinimu Maasomooji Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll olw’ekiragiro ky’Okutandikirawo abantube Radio CBS, ekiyambye ennyo mu kutumbula Olulimi Oluganda, ennono , Obuwangwa n’enkulaakulana mu bantu be.
Bwabadde ayogerako eri abantu ba Kabaka mu Mbuga ya Bulange enkulu e Mengo, Katikkiro agambye nti CBS etuukirizza ebirubirirwa ebyagitandisaawo mu 1996, era teyinza kuyisibwamu maaso.
Katikkiro mu nsisinkano yeemu n’abantu ba Kabaka abaleese oluwalo okuva e Buddu ,wamu n’ababaka ba parliament abakyala abava mu Buganda nga bakulembeddwamu Brenda Nabukenya omubaka wa Luweero, abasabye obutatwalibwa muyaga gwa byabufuzi , wabula banywerere ku nsonga ezigasiza awamu abantu.
Katikkiro era akuutidde abantu ba Buganda okukola obukuyege okuyimirizaawo emirimu gy’obwakabaka kubanga kyekitiibwa kyabwe bonna.
Minister omubeezi owa government ez’ebitundu mu Bwakabaka owek Joseph Kawuki, asabye ababaka okulwanirira enfuga eya Federo nga bayita mu mateeka, kuba Federo y’ebikola Obwakabaka bwagitandika dda.
Omubaka Brenda Nabukenya akulembeddemu ababaka abakyala abava mu Buganda, yeeyamye okulwanirira Obwakabaka, nga ayita mu kusoosowaza ensonga zonna ezireetebwa Obwakabaka.
Obukadde bwa shilling za Uganda obusobye mu 17 bwebusondeddwa abantu ba Kabaka okuva mu gombolola okuli Mutuba 19 Kasasa baleese obukadde 5.35, Mutuba 17 Nabigasa kyootera 2.3, Mutuba 16 Lwankoni 2.8, ,Mutuba 24 Ndagwe 2.56, Mutuba 4 Kyebe. 2.15,Ababaka abakyaaala okuva mu Buganda baleese obukadde 2 .
Bisakiddwa: Kato Denis