Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okwongera okufa ku bulamu bwabwe nga balya emmere erina ebiriisa ebiyamba omubiri, nÓkwettanira okwebuuza ku basawo babalambike. Katikkiro abadde mu kuziika Mwannyina...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naawa abaana 35 sikaala enzijuvu mu masomero agenjawulo, nga zino zaakumala emyaka ena miramba. Abayizi abaweereddwa sikaala beebo abagezi ebitagambika kyokka nga bava...
Obwakabaka bwa Buganda busse Omukago ne kampuni enkozi y’Ebijimusa n’eddagala ly’ebirime eya Grain Pulse,n’ekigendererwa ekyokusitula ku mutindo gw’ebyobulimi mu Buganda. Mu mukago guno Obwakabaka bwa Buganda bwakuyambibwako mu kubangula...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde emirimu egikolebwa mu masiro e Kasubi naddala egy'okuyooyoota Muzibwazaalampanga, neyebaza bonna abakoze ekisoboka okuddaabiriza Amasiro,okuva mu 2013 kaweefube ono lweyatandika. Katikkiro ng'ali wamu...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavunaanyizibwa ku by'amafuta ga Uganda, nti ensimbi ezigenda okuva mu mafuta ago zikozesebwe ku bintu ebikulakulanya bannauganda bonna okulwanyisa obwavu. Katikkiro asissinkanye abakulira...
Abakristu okuva mu kigo kye Lweza mu Kampala Archdiocese bakyaliddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, n'abasaba okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera egyenjawulo okukulaakulanya Eklezia, olwo emirimu gya Katonda gitambule....
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza Abantu okugemesa abaana endwadde kattira nga n'omusujja gw'ensiri mwogutwalidde, mu kaweefube w'okutumbula eby'obulamu. Abaana abagemebwa bebali wakati wÉmyezi 6 nÉmyaka 2. Alipoota...