Enkola ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka 2025 etongozeddwa mu luggya lwa Bulange e Mmengo.
Mu nkola eno abantu ba Kabaka okuva mu masaza ag’enjawulo munda mu Buganda n’ebweru mwebayita okukiika embuga okutegeera agafa embuga n’okudduukirira emirimu gy’Obwakabaka nga bagula Certificates.
Bwabadde atongoza Luwalo Lwaffe 2025, Katikkiro Charles Peter Mayiga ayongedde okukuutira abantu ba Kabaka okulima emmwanyi nga bwekisoboka wadde waliwo obulippo naye abagumizza nti bajja kubuvvuunuka.
Katikkiro asabye government okwongera amaanyi mu kunyweza ebyokwerinda naddala okuziyiza obubbi bw’emmwanyi n’okwongera obwenkanya mu ngereka y’emisolo eri abasuubuzi.
Mu ngeri yeemu Mukuuma Ddamula asabye government eddiremu munnabyabufuzi Dr. Kizza Besigye ayimbulwe afune obujjanjabi ate basse n’ekitiibwa mu nnamula ya kkooti ensukkulumu.
Kamalabyonna yeebazizza abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo olw’obunyiikivu mu kukunga abantu ba Buganda ku nsonga ezifa embuga n’okwekulaakulanya.
Minister wa government ez’ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’abantu ba Buganda ebweru Owek. Joseph Kawuki ayanjulidde Obuganda omuwendo gw’ensimbi ezaava mu Luwalo Lwaffe 2024, zaali 1,676,000,000/= neyeebaza Obuganda obwawaayo ensimbi ennyingi bwezityo.
Eggombolola ezikiise embuga mu kuggulawo Oluwalo lw’omwaka guno, kuliko; Mumyuka Nakawa okuva mu Kyaddondo, baleese ensimbi obukadde 16, Ssaabagabo Ntuusi ne Ssaabaddu Mateete okuva e Mawogola baleese 17,770,000/= Ssaabaddu Kapeeka okuva e Bulemeezi baleese 1,360,000/= ne Ssaabaddu Kagolo Kaliisizo mu Buddu baleese 12,210,000/= gwemugatte gwa nsimbi 47,340,000/=.
Mu nteekateeka yeemu Kamalabyonna atongozza enkola etuumiddwa “Tondeka mu Luwalo” egendereddwamu okutuukira ddala ku muntu asembayo ku kyalo nga yaakuwomwamu omutwe Abatongole n’obukiiko bw’Oluwalo ku ggombolola.
Ku mukolo guno era Katikkiro mu ngeri ey’enjawulo asiimye amasaza, Eggombolola, amasomero n’abantu ssekinnoomu abaakola obuteebalira mu Luwalo lw’omwaka oguwedde 2024, baweereddwa amayinja ag’omuwendo, ebirabo ebikalu ne kirimuttu.
Omukolo guno gwetabiddwako minister w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi wa Buganda Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmy Kisaakye, Abaami b’amasaza ag’enjawu;o nga bakulembeddwamu Kaggo Hajji Ahmed Matovu Magandaazi, bannabyabufuzi n’abantu ba Kabaka abalala bangi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K