Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza Abalimi abongedde amaanyi mu kulima emmwaanyi, naabasaba obutaterebuka olw’ebbeeyi yaazo ekyuukakyuuka.
Katikkiro asabye abalimi b’emmwaanyi obuteekanasa kika ttaka kwebakolera, era naabasaba okugatta ebirime ebivaamu ensimbi ku Mmwaanyi, Omuli Amatooke, Gonja , Ndiizi nÓkulunda olwo baganyulwe mu bulimi.
Bw’abadde alambula Omulunzi, era Omulimi w’emmwaanyi Anthony Mateega mu gomnolola ye Muduuma ne Kamengo mu ssaza Mawokota, Katikkiro asabye abalimi okugabana Amagezi ne bannaabwe, kiyambeko okukyuusa endowooza zÁbantu enkyaamu eri ebyobulimi n’obulunzi.
Katikkiro yebazizza mungeri eyenjawulo abantu abeewaddeyo okutandika okusuubula ebirime ebibadde bibuusibwa Amaaso nga Gonja ku katale kÉnsi yonna.
Anthony Mateega asabye abazadde okuyigiriza Abaana okukola nÓkuwa ssente ekitiibwa, olwo bamanye enkozesa yaazo entuufu.
Minister wÉbyobulimi Obulunzi nÓbweegassi Owek Hajji Hamis Kakomo , ajjukizza abantu ba Kabaka okwettanira tekinologiya okuyimirizaawo ennimiro zaabwe, nÓkukozesa ebijimusa naddala ebya Nakavundira ebiwa ettaka Obujimu obulungi era obw’obuwangaazi.
Omwami wa Ssaabasajja amukulembererako essaza Mawokota Kayima Sarah Nannono yebazizza Bannamawokota olwokuteekesa mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka nebalima , era abasabye bongere okunyweeza ettaka.
Ssentebe wa Boodi ya BUCADEF Omuk Dr Ben Ssekamattte, awadde abalimi amagezi okwettanira enkola ezenjawulo ezigoba Omuddo mu misiri gy’emmwaanyi, omulli okulimiramu emmere , omuddo ogukozesebwa okubikka ettaka ,n’entekateeka endala nnyingi.
Bisakiddwa: Kato Denis