Omulabirizi omulonde ow’e Namirembe Ven.Canon Moses Bbanja akiise embuga, wabadde wakayita ennaku 8 zonna ng’alondeddwa ng’omulabirizi owo 6 ow’e Namirembe.
Canon Bbanja awerekeddwako mukyala we Rev Canon Prof Oliver Nnassaka Bbanja, Rt. Rev Hannington Mutebi omulabirizi wa Kampala, Diini wa lutikko y’e Namirembe Rev Jonathan Kisawuzi n’abalala.
Baaniriziddwa Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mu Bulange e Mengo.
Omulabirizi omulonde waakutuuzibwa nga 10 December,2023 mu lutikko e Namirembe ng’adda mu bigere by’Omulabirizi Rt. Rev Wilberforce Kityo Luwalira agenda okuwummula.
Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okukolagana obulungi n’okuwa obuyambi obwetaagisa eri omulabirizi omulonde.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti eddiini zonna eziri mu ggwanga lino zaaleetebwa Bwakabaka era nga balina zonna okuziwagira, kubanga zajjirako ebirungi ebirala bingi omuli okusoma n’okutumbula eby’obulamu ate n’okulyowa emyoyo gy’abantu.
Past District Governor Owek. Nsibirwa agambye nti ekkanisa n’Obwakaba bonna baweereza abantu beebamu, kale nga tewali kiyinza kubaawula.
Ven. Canon Moses Bbanja, yeeyanzizza Ssaabasajja okukkiriza n’akiika embuga mu Bulange n’okweyanjula olw’obukulu obwamuweereddwa.
Canon. Bbanja naye yeeyamye okutwala mu maaso enkolagana ennungi Buganda gy’erina n’obulabirizi n’ekkanisa ya Uganda yonna okutwalira awamu, ng’abalabirizi baagenda okuddira mu bigere bwebazze bakola.
Rev.Bbanja yalondebwa olukiiko lw’abalabirizi olwatuula ku lutikko e Naluwerere mu bulabirizi obuggya obwa East Busoga, ng’ennaku z’omwezi 20.November,2023.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K