Ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa kikkiriza amawanga g’obuvanjuba bwa Africa okutegeka empaka z’ekikopo kya Africa (AFCON) 2027.
Amawanga gano okuli Uganda,Kenya ne Tanzania gagenda kutegeka wamu ekikopo kino mu ntegeka gyebaatuuma Pamoja project.
President wa CAF Patrice Motsepe alangiridde entegeka eno mu lukungaana lwa CAF olwókuntiko olutudde ku kitebe kya CAF mu kibuga Cairo ekya Misiri.
Amawanga gonsatule Uganda, Kenya ne Tanzania gabadde gaaatekamu okusaba kwago okutegeka empaka za AFCON 2025 munteekateeka gyebatuuma East Africa Pamoja Bid.
Wabula okulangirira okwénkomeredde kubawadde kutegeka mpaka za AFCON 2027, olwo empaka za AFCON 2025 zigenda kutegekebwa Morocco.
Guno gugenda kubeera omulundi ogusooka ekitundu kyóbuvanjuba námasekati ga Africa okutegeka empaka za Africa Cup of Nations okuva mu 1976 Ethiopia lweyategeka empaka zino era Misiri néziwangula.
Uganda,Kenya ne Tanzania okuwangula okutegeka empaka za AFCON 2027 emezze South Africa, Zambia, Botswana ne Senegal.
Mu kusaba okutegeka empaka zino, Uganda yatekayo ebisaawe okuli ekye Namboole era nésuubiza nókuzimba ebisaawe ebirala 2 okuli ekya Aki Bua Memorial Stadium e Lira ne Buhinga Stadium e Hoima.
Waliwo nókuzimba ebisaawe ebirala okuli ne Nakivubo nga ebimu kwébyo ebinatendekerwamu ttiimu ezenjawulo.
Kenya yatekayo ebisaawe okuli Moi International Sports Center ekituuza abantu emitwalo 6, Nyanyo National Stadium ekituuza abantu emitwalo 3 nékisaawe kye Kipchoge Keino stadium mu Eldoret nébirala ebyókutendekerwamu.
Tanzania yatekayo ebisaawe okuli Benjamin Mkapa Stadium, Chamazi Stadium, CCM Kirumba nébirala.
Empaka za AFCON 2027 zigenda kubeera za mulundi gwakubiri nga zitegekebwa amawanga agakolaganidde awamu.
Agaasooka okuzitegeka nga gakolaganira wamu kuliko eza 2000 ezategekwa Ghana ne Nigeria némpaka za 2012 ezategekebwa Gabon ne Equatorial Guinea.
Guno gugenda kubeera omulundi ogusookedde ddala amawanga asatu okutegeka empaka zino omulundi ogumu.
Senegal bebanantamegwa bémpaka za Africa ezasembayo ezaali e Cameroon mu 2021.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe