Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde mu butongole nti ttiimu y’essaza Buweekula eyawangula empaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka ogwayita 2025, yeegenda okuggulawo empaka ez’omwaka guno 2026 nga ettunka ne ttiimu y’essaza Kyaggwe.
Empaka zino zijja kuggulwawo nga 13 June, mu kisaawe kya Buweekula ekya Mubende NTC.
Enteekateeka eno ekakasiddwa minister w’abavubuka ebyemizannyo n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga mu lukiiko olw’awamu olwetabiddwamu akakiiko akateesiteesi akakulembeddwamu ssentebe Sulaiman Ssejjengo, n’abakulembeze ba ttiimu z’amasaza zonna 18 olutudde mu Bulange e Mengo.
Amasaza gonna gasengekeddwa mu bibinja 3, nga ekibinja Bulange mulimu bannantameggwa b’omwaka oguwedde aba Buweekula, Buvuma, bannantameggwa ba 2008 aba Kyadondo, bannantameggwa ba 2016, 2021 ne 2024 aba Buddu, Busujju ne bannantameggwa ba 2011 aba Buluuli.
Ekibinja Muganzirwazza muteeredwamu bannantameggwa ba 2015 ne 2018 aba Ssingo, Bugerere eyatuuka ku final ya 2006, Mawogola eyatuuka ku final ya 2004 ne 2006, Butambala, Kabula ne bannantameggwa ba 2006 aba Kkooki.
Ekibinja Masengere kye kisinze okukwata abantu omugamba, nga muteeredwamu Kyaggwe eyatuuka ku fayinolo ya 2024, Busiro bannantameggwa ba 2022, Bulemeezi bannantameggwa ba 2012, 2019 ne 2023, Gomba bannantameggwa ba 2004, 2009, 2014, 2017 ne 2020, Ssese ne Mawokota bannantameggwa ba 2005, 2007 ne 2013.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












