Obwakabaka bwa Buganda butongozza enteekateeka y’okukungaanya omusaayi okwetoloola amasaza gonna 18 okuyamba ku bagwetaaga.
Eno ye nteekateeka ey’okukungaanya omusaayi nga Buganda eyita mu kitongole kya Kabaka Foundation ne bannamikago ey’omulundi ogw’okubiri.
Egenda kutandikira mu ssaza Buweekula ne Buddu ng’omwaka 2023 tegunagwako, amasaza amalala gagoberere ku ntandikwa y’omwaka ogujja 2024.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bubaka bwe bweyatisse minister w’enkulaakulana y’abantu era atwala ebyobulamu, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, alagidde abantu be okwongera okuwagira enteekateeka eno egendererwamu okuyamba n’okutaasa abalwadde abetaaga omusaayi.
Ebiwandiiko biraga nti abakyala bannakazadde 18 bafiira mu ssanya buli lunaku ng’entabwe okusinga eva ku kuvaamu musaayi mungi ate nga tewali gubassibwako!
Mu nteekateeka eno Kabaka Foundation yeetaaga ensimbi ezisoba mu kawumbi okutalaaga amasaza gonna okukungaanya omusaayi unit emitwalo 25.
Omulundi ogwaggwa, abantu ba Ssaabasajja bawaayo omusaayi Unit emitwalo 157,798 nga gwakungaanyizibwa okuva mu masaza 14.
Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika, agambye nti enteekateeka eno singa eba okwatiddwa bulungi, ekiruubirirwa kya Ssaabasajja kijja kuvaayo.
Omukolo guno gwetabyeko ne Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere eyeeyamye ku lwa bakulembeze b’eddiini nti baggya kuyamba nnyo mu kukunga abakkiriza bettanire okuyamba abalala nga bawaayo omusaayi.
Mu ngeri yeemu omukolo gwetabyeko ne Bishop Michael Ssennyimba, era ssentebe wa bboodi ya Kabaka Foundation.
Ssaabawandiisi wa Uganda Red Cross Society , Robert Kwesiga yeeyanzizza Ssaabasajja olw’enteekateeka eno, gyagambye nti ebayambyeko ku ddimu ly’okunoonya omusaayi kubanga eddoboozi lye abantu baliwulira era nebakola kyalagidde.
Kwesiga agambye nti okuva Kabaka Foundation lweyatandika okukungaanya omusaayi, obungi bwagwo bweyongera era guganyudde banna Uganda bonna awatali kusosola.
Waliwo bannamukago abeeyamye okuwaayo obuyambi olw’okwanguyizaako enteekateeka eno okugenda obukwakku, nga kuliko aba Stanbic Bank obukadde 20, Supreme Marka obukadde bubiri, Civil Aviation Authority obukadde bubiri, State Wide Insurance obukadde bubiri, Finance Trust Bank akakadde kamu, RSM Eatern Africa emitwalo 50, Old Kampala Hospital (Niwagaba Dickson) emitwalo 50, Ever Best Industry obukadde bubiri mu emitwalo 50, CBS obukadde 120 mu kukunga abantu wamu ne BBS obukadde 150 mu kukunga abantu.
Mu balala abasuubizza okuwaayo obuyambi kuliko; – Uganda National Oil Company (UNOC), National Drug Authority, Mengo Hospital, Plascon Paints, Equity Bank ne Mandela Group of Companies.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.