Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka okusoosowaza Obufumbo n’okukolera awamu okubuyimirizaawo, nti kubanga amaka ge gamu ku masiga Buganda eyeeyagaza kwerina okutuula.
Katikkiro agambye nti Obufumbo mu nsi yonna ssibwangu naakamu, nti kyokka busobola okuwangaala ssinga ababubaamu basalira wamu amagezi okubukuuma.
Katikkiro agambye nti abafumbo balina okwegendereza
emitimbagano, n’amawulire agasasamazanti kubanga gonoonye buli kimu, obwesigwa n’okubukwasa Katonda.
Katikkiro abadde yeetabye ku mukolo Ssentebe wa boodi ya Nnaabagereka Development Foundation Omuk. Jeff Ssebuyiira n’Omukyala Lydia Mpanga kwebajagulizza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu.
Katikkiro Mayiga mungeri yeemu asabye abafumbo okweteekamu ensimbi ,baweerere abaana, ate beerabirire, olwo ebiseera byabwe ebyomumaaso bibe bitangaavu.
Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu nga yaakulembeddemu okusaba okw’okwebaza Katonda olwebyo byatuusizza ku bajaguza, alabudde ku butabanguko mu Maka, naddala obutera okusukka mu biseera ebyennaku enkulu.
Yebazizza Dr.Jeff Ssebuyiira n’Omukyala Lydia Mpanga Ssebuyiira olw’okubeera ekyokulabirako.
Omukolo guno gwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Naginda, Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Dan Muliika ,Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa,Owek David Mpanga, abaami b’Amasaza agali mu Uganda n’ebweru wa Uganda, n’abakungu mu government ya Beene neeya wakati.
Bisakiddwa: Kato Denis