Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole kyekaddiyirizo ly’ebyobulambuzi okuva mu ggwanga lya America mu kibuga New York ki The Metropolitan Museum of Art, okukolera awamu nakyo okwongera okutumbula ebyobulambuzi by’obwakabaka munsi yonna.
Ekaddiyizo lya The Metropolitan Museum of Art lyerimu kulisinga okubeera ne byobulambuzi eby’amaanyi munsi yonna, era ebiwandiiko biraga nti kumpi buli mwaka lirambulwa abantu abasukka mu bukadde 7.
Eby’obulambuzi by’Obwakabaka ebiteereddwako essira mu nkolagana eno , kuliko amasiro ge Kasubi nage Wamala .
Ssaabawolereza wobwakabaka era minister wa government ez’ebitundu Owekitibwa Christopher Bwanika, asinzidde mu Bulange Mengo mukusa omukono ku ndagano n’abakulira The Metropolitan Museum of Art ,nategeeza nti omukago gutuukidde mu kiseera ekituufu nga Ssabasajja Kabaka agenda kuweeza emyaka 30, ng’ali ku Nnamulondo ya bajjajja be alamula obuganda.
Ssenkulu we kitongole ekitwala ebyobulambuzi mu bwakabaka ki Buganda Heritage and Tourism Board Kasozi Albert agambye nti bakwongera okufuna banamikago okutumbula ebyobulambuzi mu Buganda, okwongera aokubifunamu ensimbi ezegasa.
Senkulu wa The Metropoliatan Museum of Art Alisa La Gamma ne Steven Battle bagambye nti ekifaananyi kyebaafuna nga bakyaddeko mu masiro e Kasubi, kyekyabasikiriza okukolera awamu n’Oobwakabaka bwa Buganda.
Bisakiddwa: Lubega Mudashir