Obwakabaka bwa Buganda bwakwanjula ekiwandiiko ekirambika enteekateeka ezikoleddwa mu Buganda okunnyikiza obukulu lw’obutonde bw’ensi, mu lukungaana lw’ensi yonna olunaatuula e Dubai.
Olukungaana luno olw’ensi yonna olukwata kukukuuma obutonde bw’ensi lutandika nga 30 November,.2023 lukomekkerezebwe nga 12 December, 2023.
Minister w’Obutonde bw’ensi, amazzi , ekikula ky’abantu ne Bulungibwansi mu Bwakabaka Owek Mariam Mayanja yagenda okukulemberamu ekibinja ekiva mu Bwakabaka.
Babadde ayogerako eri bannamawulire u Bulange e Mengo, Owek Mariam Mayanja agambye nti entekateeka y’Okusimba emiti mu Bwakabaka ejjumbiddwa nga bakolera wamu ne bannamikago.
Bannamikago mu kaweefube w’Okutumbula obutondebwensi omuli million trees international Organization,World Wide Fund for Nature ,Joy for Water ne Climate Action Network Uganda nga bakolaganira wamu n’Obwakabaka, batenderezza Ssaabasajja Kabaka olwokulambika okulungi mu kutaakiriza Obutonde.
Gibril Twinomujuni ku lwa bannaukago, agambye nti bakugenda mu maaso nekaweefube w’Okusimba emiti n’Okuzzaawo ebibira , okutaasa ensi eno ebibambulira ebiva ku kwonoona Obutondebwensi.
Bisakiddwa: Kato Denis