Obwakabaka bwa Buganda bukoze endagaano n’ekitongole Kya Kampala Domestic Stores ekigenderera okuwa abavubuka ba Buganda emirimu, nga bayita mu kulima n’okutunda emmwanyi kyebayise Coffee for decent youth Employment.
Okuteekako omukono ku ndagaano eno kukoleddwa minister omubeezi ow’ebyobulimi Owek. Hajji Hamis Kakomo ku lw’obwakabaka, ate Kimui Jhon nasaako kulwa Kampala Domestic Stores.
Omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek.Twaha Kawaase yatongozza omukago guno nasaba abavubuka okukoma okulowooleza mu kuwebwa ebintu ebyobwereere, bekolerere.
Minister omubeezi Ow’ebyobulimi n’obuluunzi Owek. Hajji Hamis Kakomo agambye nti emirimu mingi ejigenda okukolebwa mu mukago guno omuli okuyigiriza abavubuka okugula emmwanyi, n’okudaabiriza ennimiro zaazo, n’okukakasa nti abavubuka bafuna emirimu egyobuvunanyizibwa n’ebirala.
Akulira ekuteekateeka y’emirimu mu Kampala Domestic Stores Kimuli Jhon agambye nti omukago guno gwakuyamba abavubuka okutandikawo ennimiro zabwe n’okubatendeka ku by’okusuubula n’okutunda emmwanyi.
Enkola eno yatandika nadda mu bitundu bya Masaka, Mpigi, Lwengo n’ebirala.
Bisakiddwa: Nakuyange Kellen