Obwakabaka bwa Buganda bukoze endagaano n’ekitongole kya Love luck (Lake Victoria Region Local Authiorities) egendereddwamu okukubiriza abantu okukuuma ennyanja nga nyonjo n’okutumbula obutonde bwensi.
Mu ndagaano eno mulimu okusimba emiti ku mbalama z’ennyanja Nalubaale, n’okukubiriza abantu okukuuma ennyanja nga nnyonjo.
Minister w’eby’ettaka mu Buganda Owek.Mariam Nkalubo ataddeko omukono ku lw’Obwakabaka, ate Dr Emmanuel Sserunjoji ku lwa Love Luck, ku mukolo oguyindidde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde abantu ba Kabaka amagezi okutandiikira mu nsulo amazzi gye gava okujja mu Nalubaale, bwebaba bakulwanyisa bukyafu ku Nnyanja kubanga gyebuva.
Owek.Mariam Nkalubo agambye nti ebyobufuzi nabyo byonoonye ennyanja ng’abakulembeze batya okugamba ku bantu olw’okutya okubamma akalulu.
Emmanuel Sserunjoji nga ye Ssentebe w’ekitongole kino agambye nti balina obuvunanyizibwa okulaba ng’abantu ababeera ku nnyanja bali mu mbeera nungi n’okubakulakulanya.
Ekitongole kino kikwatagana n’amawanga amalala agaliranye ennyanja Nalubaale okuli Tanzania ne Kenya, olulwanyisa obukyafu ku Nyanja nga balina n’ekiruubirirwa ekyokutumbula emikago okutuukira ddala ku ssemayanja owa mediteranean sea.
Mu ngeri yeemu Obwakabaka bukoze endagaano nékibiina kya Uganda Biodiveristy fund okuzzaawo obutonde bwénsi nga bayita mu kusimba emiti.
Minister wébyettaka mu Buganda Owek. Mariam Mayanja Nkalubo yataddeko omukono ate ssenkulu Ivan Amani náteekako ku lw’ekitongole kya Biodiversity Fund.
Bisakiddwa: Naluyange Kerren