Obwakabaka bwa Buganda buguze emigabo obukadde bubiri mu kampuni y’essimu eya Airtel Uganda, egibalirirwamu obukadde bwa shs 200m.
Kampuni eno yaggulawo enteekateeka eno eri abantu bonna n’ebitongole ebyagala okugula emigabo mu Airtel.
Satifikeeti ekakasa obuguzi bw’emigabo gya Buganda mu Airtel ekwasiddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro asomoozezza banna Uganda n’okusingira ddala abavubuka okwemanyiiza enkola ey’okugula emigabo bakuumiremu ensimbi zabwe okwewala okufiirizibwa.
Katikkiro era ategeezezza nti obwakabaka buli mu nteekateeka ey’okunyweeza abavujirizi bonna bafuuke banna mikago, okusobola okutambulira wamu nabo okukulakulanya abantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Omumyuuka owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek Robert Waggwa Nsibirwa, atenderezza omukago gw’Obwakabaka ne kampuni ya Airtel nti gubadde gwa bibala byereere.
Ssenkulu wa Airtel Uganda Manoj Murali, agambye nti mu nteekateeka eno , emigabo gya buwumbi bwa shilling za Uganda 800 gyrigenda okutundibwa eri bannauganda bafune obwannanyini mu kampuni eno.
Ali Balunywa akulira ba kitunzi mu Kampuni ya Airtel agambye nti nabo benyumiririza mu nkolagana gyebalina n’obwakabaka era n’ayongera okugumya banna Uganda nti kampuni yaabwe esaanye okugulamu emigabo.
Enteekateeka eno ey’okugula emigabo mu Airteln egwako nga 13 October,2023.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred