Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo mu butongole eddwaliro lya Muteesa II Kalasa erisangibwa mu gombolola ye Makulubita mu ssaza Bulemeezi.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro awanjagidde abantu ba Kabaka bakomye okwejjanjaba nga tebagoberedde kuluηamizibwa kw’abasawo.
Bwabadde aggulawo ddwaliro lino, katikkiro agambye nti okuliggulawo kiri mu nteekateeka eyabagibwa okujjukira amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II, neyeebaza bannamikago b’Obwakabaka mu byobulamu.
Prof. Dr. Jjoloba Moses nga yakulira Buladde Medical Research Institute ekitongole ekikolagana obutereevu n’eddwaliro lino,agambye nti abantu abakunukiriza mu 20,000 be bakajjanjabwa okuva mu mwaka 2024 bweryatandikiriza okujjanjaba abantu.
Abakyala 196 be bakazaalira mu ddwaliro lye Kalasa, abalwadde 3000 bebaweereddwa ebitanda, sso nga abantu abasoba mu 1000 bafunye obujjanjabi obwenjawulo.
Prof. Dr. Jjoloba akinogaanyizza,nti nga bayita mu nsiisira z’Ebyobulamu boongedde Omutindo mu buweereza, era bataddewo omuyungiro gw’ebyobulamu nga bakozesa abakugu mu mawanga nga Bungereza,America naamalala.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Bulemeezi Kangaawo Omulangira Dr. Ronald Mulondo agambye nti eddwaliro Muteesa II Kalasa Kirabo kinene eri Abantu be, era yeeyamye okuyambako mu kuzimbira Abasawo ku ddwaliro lino ENnyumba ,baweereza bulungi Obwakabaka.
Omwami wa Kabaka akulembera egombolola Makulubita Lumbuye Golias yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okulowooza ennyo ku Bantu baabwo abetaavu.
Bisakiddwa: Kato Denis











