
Olukiiko olufuzi olwékitongole ekikwasaganya obwakabaka ne bannamikago ki Majestic Brands lutongozeddwa era neruzzibwa buggya, ekisanja ekirala kya myaka esatu .
Ssentebe wa boodi ya Majestic Brands ye Omuk. Robert Nsereko, omumyuka ye Omuk. Veronica Namagembe,Omuwadiisi Remie Kisaakye.
Ba memba abalala kuliko Fred Mbasadde Kabuye, John Kizito Kaggwa , Omuk John Kitenda, Adrian R. Bukenya Mulindwa, Edith Kasekende Nsubuga, Sophe Nantongo ne Julius Kakembo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatongozza olukiiko luno,násaba abakiise ba boodi eno okukola ekisoboka okusitula ebyenfuna bya Buganda, nga bayita mu kusaka bannamikago, okuzza Buganda ku Ntikko.
Katikkiro asabye abalondeddwa ku boodi eno okukuuma ekifaananyi kyÓbwakabaka wonna gyebalaga, nókulaba ngémirimu gyonna egikolebwa gitambulira mu kkowe eryokukuuma Namulondo.
Minister wébyensimbi nÓbusuubuzi mu Bwakabaka era nga yemumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa ,yebazizza ba memba abawummudde ku lukiiko luno olwebirungi byebakoze mu Bwakabaka, omubadde okuwagira ebyemizannyo nga tebeebalira, okulwanyisa Mukenenya nÓkusitula embeera zábantu mu Bwakabaka.
Ssentebe wa boodi ya Majestic Brands Omuk Robert Nsereko agambye nti wakwesigama nnyo ku nkola ejjuddemu obulambulukufu , naawa obweyamo obwokuweereza Kabakawe nÓbwakabaka mu bwerufu n’okwagala.
Bisakiddwa: Kato Denis