Omuwendo gwamazike mu nsi yonna buli lukya gweyongera kukendeera, so kye kimu ku bisinga okuyingiza ensimbi empitirivu okuva mu balambuzi abagettanira okugalabako.
Kigambibwa nti mu myaka 100 egiyise amazike gabadde gasoba mu bukadde 2 mu nsi yonna, mu kiseera kino gali mu mitwalo 130,000.
Uganda eyinako amazike 5000 gokka.
Dr Joshua Rukundo akulira ekitongole kya Chimpanze Trust ekirabirira akazinga ka Ngamba Sanctuary akakuuma amazike agawerako mu Uganda, agamba nti abantu bebalabr b’amazike abasooka era nga buli webagalabako, balowooza kimu kyakugatta.
Dr. Rukundo agamba nti abantu basaanye okwongera okusomesebwa obutatuusa blabe ku mazike, nti kubanga singa obeera tolitaankudde osobola okuliyitako naweeyongerayo.
Ayanjudde enteekateeka z’okwaniriza Dr. Jane Goodall omutandisi w’ekifo kya Ngamba Sanctuary agenda okujja mu Uganda nga 20th August,2023.
Okujja kwe kwesigamye ku kaweefube w’okukuuma obutonde bwensi, n’okwongera okutumbula ebyobulambuzi mu Uganda.
James Byamukama senkulu wekitontoge kya Jane Goodall Institute agambye nti okukyala kwa munnabutonde Jane kwesigamye kukuuma amazike era ono wakwongera okumanyisa eggwanga nti ebisolo bino tebiyina bulabe eri bantu.
Bisakiddwa: Recoboam Mpagi