Bannamawulire bavudde mu mbeera nebekandaga nebafuluma mu lukungaana lwabannamawulire olwabebyokwerinda ku media center mu Kampala, okulaga obutali bumattivu bwabwe, eri abebyokwerinda olwokukakananga kubannamawulire nebabawuttula olutatadde, ababakuba nebasigala nga bayinayina.
Maj Gen Henry Masiko akwasagabya abyamagye nomuntu wabulijo yabadde attanya ku nsonga za terehe sita bannamawulire kwekumubuuza anyonyole ku bannamawulire abazze bakubwa enkya neggulu.
Maj Gen Henry Masiko wabula mukunyonyola ate aze mukutegeeza bannamawulire nga bwebalina okubeera abakugu nga bakola emirimu gyaabwe, ekintu ekigye bannamawulire mu mbeera.
Bannamawulire abalala bagambye nti kabeesonyiwe okukola amawulire gebitongole byebyokwerinda okutuusa nga beterezeza.
Omwogezi wamaggye Brig Gen Flavia Byekwaso agezezaako okuwooyawooya bannamawulire nti ensonga zigenda kukolebwaako wabula abaddenga afuuyira endiga omulele, era bwebatyo nebafuluma ekizimbe kya media center.
Police eyiye aba LDU ,nabapolice saako akakomera ka police ekemmotoka etambula nekigendererwa ekyokukwaata bannamawulire, wabula abamu kubo beemuludde nebadduka.