Bannamateeka baddukidde mu kooti etaputa ssemateeka, bagala eggyewo akakalu ka kooti akassibwa ku bantu ababeera bakkiriziddwa okuyimbulwa bawoze nga badda waka, wabula nga tebalina busobozi bukasasula.
Bannamateeka nga bakulembeddwamu Amos Kuuku okuva mu Ssetimba and company advocates n’abamu ku bantu abagamba nti baakosebwa akakalu, okuli Kasule Ezekiel and Kajubi Frank Barnabas bagamba nti waliwo abasibe bangi abakyalemedde mu makomera olw’obutaba na busobozi busasula kakalu ka kooti.
Munnamateeka Kuuku agamba nti abasibe ababeera batuukirizza obukwakkulizo obulala omuli okuleeta ababeeyimirira, nókulaga gyebabeera, naye nga tebalina busobozi busasulira kakalu ka kooti basaanye bateebwe nga.
Bannamateeka bano era bagala kooti eragire abakwatibwako okuyimbula abasibe bonna abaklyali mu makomera olwókulemererwa okusasula akakalu ka kooti, ate eragire ne government okubaliyirira.
Kuuku agamba nti nti nábantu ababeera balina obusobozi obusasula akakalu ako, ate emisango bwebagimaliriza némitendera gyebayitamu okusaba akakalu ako kabaddizibwe nagyo mizibu ddalu, nga nábamu batambula nebakoowa okutuusa lwebetamwa nebabivaako.
Okusinziira ku alipoota yéssiga eddamuzi eya 2021, obuwumbi bwa shs 26 bakyatubidde nabwo, olwábantu abámaliriza emisango gyabwe okuba nga tebagendanga kuzinonayo.
Bisakiddwa: Betty Zziwa