- Bannmagoye okuva mu buvanjuba bwa Uganda abegattira mu kibiina ki Source of the Nile people with Albinisms bawanjagidde government okuggya emisolo ku bizigo byabwe byebakozesa okutangira omusana okukosa ensusu zabwe, ate biteekebwa ne ku lukalala lw’eddagala government lyeweereza mu malwaliro gaayo.
Bakulembeddwamu executive director w’ekibiina kino Ojik Peter mu lukiiko lwabwe ttabamiruka olutudde ku kitebe kya district ye Jinja.
Bagamba nti bannabwe bangi tebalina busoboI bwetusaako bizigo byabwe, ekibaleetedde okulumbibwa endwadde ezitali zimu, okusingira ddala kkookolo w’ensusu.
Ojik era awanjagidde government okujjulula ensimbi ezibasoloozebwako ekitongole ky’e eby’omutindo mu ggwanga, okwekenenya omutindo gw’ebizigo bye bakozesa.
Agamba nti emisoso gino gyonna giviirako ebizigo ebyo okuba eby’obuseere, n’okubakaluubiriza, nti so nga bandyagadde banna magoye bonna ebizigo bino babifunire nga ku bwereere.
Ssezibwa Paul nga ye sentebe w’omukago guno ategezeza nti bakyalina omulimu munene okukyuusa endowooza z’abantu ku ngeri gyebalabamu banna magoye, nti kubanga wakyaliwo ababasosola.#
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher