Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abazadde okumanyisa abaana baabwe nga bakyali bato,nti mulimu gwabwe okukuuma n’okutaasa Namulondo ate nókubakulizamu omutima gwa Buganda ogutafa.
Katikkiro bino abyogeredde mu Bulange e Mengo, ku mukolo gwókutongoza abakulembeze abaggya abékibiina kya Baganda Nkobazambogo ku mutendera gwa masomero ga senior námatendekero agawaggulu.
Akinoganyiza nti abazadde bateekeddwa okukuza abaana babwe nga bakimanyi bulungi, nti mwe mugenda okuva abatuuze abanagasa Buganda ne Uganda mu biseera ebyomumaaso.
Asabye abakulira amasomero n’abasomesa basobozese abayizi okutandikawo ebibiina bya Nkobazambogo mu masomero,ate nókubawa obuwagizi, nasaba n’abakulembeze abagya abalondeddwa bebeere besigwa baleme kuswaza Kabaka wabwe.
Minister w’abavubuka mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekebembe Kiberu ategezezza Katikkiro nti bamaliriza okuzimba obukulembeze bwa bavubuka ku mitendera gyonna,era nti waliwo okugenda mu maaso munambika ya bavubuka mu Buganda.
Owek Balikuddembe Joseph omuyima wébibiina bya bavubuka mu Buganda ngaali wamu ssentebe wa bavubuka ba Buganda Baker Ssejjengo bakubiriza abazadde nabasomesa okuwagira abaana babwe mu buweereza buno,basobole okubutuukiriza n’obutatiirira Namulondo.
Ku mutendera gwóbukulembeze bwa Nkobazambogo Akalibakendo obwa masomero ga senior, Nakalo Brivado Martha owa Lubiri SS yalondeddwa nga ssentebe omuggya,okudda mu bigere bya Adrien Lubyayi Abraham era owa Lubiri SS.
e
Ku mutendera gwa matendekero agawaggulu, Mutebi Benon owa Kampala International University ye ssentebe omuggya, azze mu bigere bya Raziya Nantamu.
Balondeddwa ku kisanja kya myaka 2, era bonna abalondedwa baweze okuwereza Kabaka wabwe awatali kumutiiririra.