Omuvubuka abadde asamba omupiira ne banne afiiridde mu kisaawe.
Enjega eno eguddewo emisana ga leero ku kyalo Busikiri mu muluka gwe Wambaale , mu Gombe division Nansana municipality mu Wakiso district.
Omugenzi ye Tumusiime Emmanuel banne gwebabadde baakazaako erya DJ Emma abadde wa myaka 30 egy’obukulu.
Baabadde azannya nabo nga bakulembeddwamu Nsamba Ronald bategezezza, nti babadde basamba omupiira Tumusiime ne munabwe omulala nebekonagana emitwe.
Bekoonye omulundi gumu Tumusiime naagwa wansi, bagenze omukuyoolayoola okumutwala mu ddwaliro nassa ogwenkomerero.
Abatuuze ku kyalo Busikiri bategezezza nti Omugenzi abadde akoze omulimu munene mu bavubuka banne, naddala mu byenkulaakulana mu kitundu kino n’okutumbula obumu ng’ayita mu mupiira.
Embeera y’abazannyi b’omupiira okufiira mu kisaawe nga basamba eyongedde okwekennenyezebwa ekibiina ky’ensi yonna ekivunanyizibwa ku mupiira ogw’ebigere ekya Fifa.
FIFA eriko okunoonyereza kweyawomamu omutwe mu mwaka gwa 2020,okwatuumwa ”Fifa sudden death” kwakolebwa Saarland University eye German.
Ebyavamu kunoonyereza byalaga nti mu bbanga lya myaka 5 gyokka, abantu 617 bebaafiira mu kisaawe nga basamba omupiira.
Okunoonyereza kwakolebwa wakati wa 2014-2018.
Bano 617 kuliko abaali baguzannyira ensimbi,n’abaali basambamu okunyumirwa.
Abasinga obungi kwabo abaakolebwako okunoonyereza bazuulwa ng’ekyabatta kyavanga ku mutima kwesiba.