Omusirikale wa UPDF afiiriddewo mu mbulaga mu kabenje akagudde e Bajja Lukaya ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Ababaddewo bagamba nti afudde babadde atambulira mu mmotoka kika kya Double Cabin ebadde eggulira ekkubo omu ku bakulu mu UPDF, bw’ebadde eyisa lukululana okumpi n’essomero lya Bajja Primary School neyambalagana n’emmotoka endala kika kya Harrier UBG 979J Kawundo.
Emmotoka y’amagye evudde ku kkubo neetomera omuti, abaddewo basaanze omusirikale omu afiiriddewo mbulaga, ate abalala kiteeberezebwa nti kuliko abafudde nga baddusibwa mu ddwaliro.#
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru